Amaka Agatudde Entende Jjana Ya Ku Nsi

Amaka gayamba mu kukola ku byetaago by’abantu era gwe musingi ogw’okutumbuka kwabwe mu by’omwoyo. Ekitabo kiraga ebintu ebirina okukolebwa okutandika amaka agatuusa eri omukwano omutukuvu; emisingi egirina okugobererwa okufuula awaka ennimiro ez’emirembe n’obutebenkevu; na butya bwe bayinza okufuna essanyu eritaggwaawo. Kinnyonnyola ebyetaagisa okuzimba n’okulunngamya amaka era ne kiwa eby’okulabirako ku nsonga ezo, naddala okuva mu bulamu bwa Nnabbi n’Abasiraamu abatutumufu. Kyogera ku bintu abakazi n’abasajja bye beetaaga okussaako omwoyo mu maka, okugunjula abaana n’okubayigiriza, ekifo ky’abakazi mu Busiraamu n’okuyigirizibwa kwabwe, ne kiwa n’eby’okulabirako ebimu ebya ba Ottoman.


Read In Other Languages

ALBANIAN
ALBANIAN
ARABIC
CHINESE
ENGLISH
FRENCH
GEORGIAN
KAZAKH
KURDISH
KYRGYZ
PERSIAN
POLISH
PORTUGUESE
RUSSIAN
SWAHILI
UZBEK