Nnabbi waffe omwagalwa Muhammadi yannyonnyola Kulaane, era n’atubuulira ebintu bye tuteekwa okukola ne bye tutateekeddwa, ng’ayita mu bigambo bye (hadiisi), tusobole okubeera abasanyufu muno mu nsi ne ku Lunaku lwenkomerero. Hadiisi era ziyamba okuyiga eddiini yaffe mu ngeri ematiza. Ekitabo kino kkunnganyizo lya hadiisi amakumi ana (40) omuwandiisi ze yaleeta nga zeetooloolera ku nfumo ezigenderera okugunjula abaana, nga mulimu hadiisi ezikubiriza okukola ebikolwa ebirungi ate n’ezo ezigaana okukola ebintu ebibi mu mpisa n’eneeyisa.