Obusiraamu, ng’eddiini endala, bukkiririza mu kubeerayo kw’Omutonzi, n’ababaka abaalanga eddiini. Ekitabo kino kirambulula enzikiriza y’Obusiraamu ng’eddiini eyakomererayo. Era omuwandiisi yakyawulamu ebitundu bina: Ekitundu ekisooka kyogera ku bintu ebikulu ebyawula Obusiraamu. Ekitundu eky’okubiri kyogera ku nzikiriza, okusinza okw’emikolo n’amateeka agafuga ensonga z’ebyensi (Mu’amaalaat). Ekitundu eky’okusatu kyogera ku Kulaane ey’ekitiibwa, n’ekitundu eky’okuna kyogera ku Mubaka Muhammadi Omulondemu.